text
stringlengths 0
2.73k
|
---|
ezo zonna enkota bwoba nga oziyunjizza mu kasuku ako wamma okira nyoko omukono |
gano amayuuni ge waleese ga kikoyo tegaaliike |
gano amaziga g'olaba ga ssanyu muwalawo akubyewo obweza |
gano majjankunene genyini olengedde omukazi gye yewanise |
gano mawano gennyini eyali emperekeze ate kati si ye muggyawe |
genda ewa kojjawo akuwe ku bbomba opike mu mupiira |
genda omusange ku ssitoowa atutteyo binyeebwa |
genda onoge ku mujajja ofumbe onyweko mpulira olubuto lukugulumba bulala |
ggenda onnogere ekiyondo nnaabeko amasanda |
ggoberera banno bagenze mugga |
gino eminyolo gikaddiye mugende muntemereyo emirala |
gino emisanvu ani yagitadde mu kkubo lyaffe |
guno omuggalo gutuyigirizza okulima |
guno omulembe gutabuse ate gyetuva omwana teyeegaanyi nyina lwa ssente |
guno omulembe gwa kyejo bulala olabye omwana bwayanuka nnyina |
guno omulimu gwa bamanyi tugulekere ababitegeera |
guno omulimu tulina kugumala leero |
guno omuti ogulaba guyitibwa muyiki ate eri nsaali |
gwe ali mu lulondakambe abeewammwe baabali bakuleka |
gwe ataleese kibbo lumonde onoomuleetera wa |
gwe atalya nsuusuti tomanyi biwooma |
gwe awenyera ekisinzii kyabadde ki nga kireenya |
gwe bwoba omazeewo emmere toyogera |
gwe bwoba otambula tomagamaga olaba omuti bwegukukompodde |
gwe nnatumye ku dduka nga tadda simanyi ali mu muzaanyo |
gwe ogaanye okweyanza sigenda kuddamu kukuwa byange |
gwe olowooza abo balumirirwa abalala |
gwe olowooza bwotoogende onoofunayo akantu |
gwe olowooza nti buli atunula aba alaba oyo tatulabye |
gwe olowooza nti buli muyigiriza abeera muyivu |
gwe olowooza yandirinze gwe teri baguzi balala yagitunda luli |
gwe omulimi wamma nnyamba ekitooke ekisajja kye kiruwa |
gwe otambula otunudde wa essowaani yabandi gyoyasizza onoogisula |
gwe tomanyi nti emmwaanyi tezeetaaga kwanika mu ttaka |
gwe toyawula bigaaga na buyindiyindi bino bigaaga |
gwe toyawula kasaana na mwerama nnyo ddayo mangu okandeetere |
gwe toyawula kyetutumula na kisebe |
gwe wabadde okazaanyisa akaba bwekakufuukidde olukokobe |
gwe watumye omwana amata ewa musunda bambi asanze gaweddeyo |
gwenno alondobadde otyo bwe weetegula mpulidde bakunoonya |
gwenno amagamaga bw'otomera ebikonge toompolomera |
gwenno anyiziira bwotasembeyo nja kujja nkwongere |
gwenno asumagira t'otuyiira enva zaffe n'otuliisa amaluma |
gwenno bwotosala magezi ne weetaako mangu omulimu gwandikusuba |
gwenno eyeekanikirira mbu ositula tottula omugongo |
gwenno kale naye ssasira abakedde nekakati tebanafuna |
gwenno lekeraawo okutankuula entalo ku banno tuulaako ewuwo |
gwenno lwakwenyooma naye naawe osobola okutema ebikata |
gwenno mwana gwe bwonojerega emirimu otyo otuuse okufa obwavu |
gwenno ogaayaaliridde engozi eyo naye eyinza okukuleetera ebizibu |
gwenno oli musobya ndaba oyagala kulya ggi wesubye omuwala |
gwenno tonkoonkonya obwo obuswa nja kubukunyakulako mbulye |
gwenno nkulaba oyagala kutwala nnyondo y'abandi |
gweno ozze mu kunaanya gakulemye okunoonya eddagala lya kigere |
ha lengera balo akagaali ng'akasotta kivubuka oba alaga wa |
ha ndabye nga mutabani wo yayiribya ddigi temukube ekigwo mulabule |
ha oba waloose otya n'ondetera ku nningu gyendudde nga njoya |
jajjaffe oyo gw'olaba awezezza emyaka kikumi be ddu naye akyalaba bulungi |
jangu olabe omugagga waawo eyaziba ekkubo erigenda emugga |
jjajja yatugaana okulya ennyama y'engabi kubanga gwe muziro gwaffe |
jjajjaffe yeyali omwami w'ekyalo kino |
jjangu nkulage wetuteereka ebisumulozo nze NGNGenda |
jjangu olengere kiki kiri ekyawanikiddwa mu matabi g'omuyembe |
jjangu tugende ku ssogolero olabe ekitaliri ky'ombuuza |
jjangu tugende tumubuuzeeko tuludde okugendayo |
jjukiza banno tebeerabira okuggalawo anti mpulira teri kanyego |
jjuza eppipa ezo nnya wewummulire ago gamala |
ka mmale okulaba ono mugira mulya nnabasanga |
ka mwesonyiwe luliba olwo naabaako kyaneetagako anti ennungi tezikya bbiri |
ka ssebo kalabye anti kitaawe waako yakaleka ku mabeere olwagya akagere ne nyinna waako n'abula |
ka ssebo nga kalabye ani anaakabudamya mu kiseera kino |
ka ssebo nkasanze wali nga kava wa musawo naye katandise okukuba ku matu |
kaawa oyo yantama ambuza otulo |
kabalagala we nsangi zino takyalimu kaamulali |
kajjajje oyo yeeyatuyigiriza okukuba ssekitulege |
kale abalya empuuta mbasaasidde ye tegula busanga kati bagyesonyiwe |
kale bba oyanukula otya nnyoko bwotyo onooba muntuki gwe |
kale ettooke lya munno limuddize nkukoleze eddala |
kale gwe nsekerera nga nze eno bwe mpoomerwa bino si bisokomi gano masunya |
kale labaayo abanonye enku badidde mu ntwala yamatungulu era abato |
kale mwaswadde okundeka mu bizibu mwerabidde nti ekkumi terikyawa omu |
kale ogamba otya nti tolina nva ku ggobe lino lyoraba |
kale olabye otuuse ekifenensi kyakaggwawo oluyala terukukasakate linda nzijule |
kale singa bwosokomera emmere n'emirimu bwogikola |
kale vaawo tokosa munno |
kalege yaleka omwana omu oyo yekka gwetumanyi |
kalibattanya yazadde balongo olabye omukisa abo ba mulundi gwa kusatu |
kalitunsi gwe yali asimbye yenna yalibwa enkuyege |
kano akaana katandise okunuuna engalo nga ka myezi bwezi |
kano akaddo okalaba kekavumula omutwe omuteezi kekwate tolyejjusa |
kano akalembereza ke nfunye nnina kukola nnyo anti tomanya bya nkya |
kano akambe kekansibirirwa abewaffe nga nfumbirwa sikagaba nnyabo |
kano akamotoka twakagula kutambuza nnyaffe |
kano akasimu ani y'akalese wano |
kano akatala tekudda mmere ka lunnyu |
kano akati kaliko obumuli obuwunya akaloosa |
kano akatogo mwakasedde ebijanjaalo nammwe ng'ate mwabireseewo |
kassoli bwawumba tavaamu kawunga kawooma |
kasulu zandiba nga zagwayo oba okutusenguka |
katambaala eyabajjanga amaato yadda wa |