text
stringlengths
0
2.73k
kati zino enzingu ssatu nga tuli mu kikome
katonda talina kitonde kiggya kyatonda byonna yabitonda dda lwakuba ebimu tetubimanyi
katonda yawa yawe amagezi olaba asobodde okuvuunuka obuzibu obwo ddala wamaanyi
kawala ka ereni nako k'ayiga okutunga engoye
kawala ka munywanyiiwo munange kaasobera ewa nnyina waako
kawalako buli lwekandaba nga kabikka engalo ku maaso mbu kekwese
kawalako ejjute lyakasuzizza bubi kaasuze kakaaba ekiro kyonna
kawalako kayavudde mate tekaagala kwesiiga ttaka
kawalako kayitiriza olugono kakomeko
kibuyaga kyeyakoze ewaffe tekitendwa emiti nebitooke tetwasigazza
kino ekire ekyaleero kisusse olaba ne jjalaja abooga
kino kyebonere okusanga abaana ba ntoniyo bonna nga batuddeko wamu
kitaffe oli eyavanga e bubuli akyaliyo
kiwala kya kamunye lwabutasoma naye kikazi kyampisa bulala
konkona oyingire naawe mu nju temuli mukodomiwo
ku mmwe ani yali alabye ku jjegejju
ku nkomerero y'omwezi guno lwe tusula mungalabi z'omutaka
ku zino ennimiro z'emiti ze twasimba olowooza tukyalina wetutyaba oluku
kuluno bwotawangula ng'oliko omuyima akutuulidde ku kisaabo kankusabire
kuluno mpaawo atakaaba negwotasuubira omusanga bimuyiinze
kumpi buli lunaku ziba ntalo ewaabo nga omwana alwana ne mukakitaawe
kuno kwonna tekukyaliko mmuli onobagisaaki musajja wattu
kw'abo abeesimbyewo sirinako gwempagira
laba bano abaana abazaanyisa omuliro temukaaba nga gubokeeza
laba ono atamanyi kwokya kasooli linda amanda gagwe
laba ono atayawula ssaabiro na ssabiro
leero bano bebatumye oba baakulira wa tebabuuza n'akubuuza
leero bwotojja naffe tetulidda wamwe
leero endibaga gyemudibaze bino oba mbikole ntya
leero gwe atefaako wabaaki
leero gwe ow'olulembe otyo onoosobola okukolera ewaffe
leero kino kyebonere kaliisa okutugulira ku nva oba yaloose atya
leero lwe lunaku olusembayo lwetwaweebwa yanguwa tutwale ebintu bya bandi
leero lwetusabira abagenzi mwanguweeko tuteeketeeke ng'obudde bukyali
leero munnagenda okussenya enku nga ndaba obudde buyise
leero munnoowo enswa zamulemye okuzuuka
leero mwe bwe sibalagira temwerowoleza empogola ziruwa
leero naawe gwe buli kyebakugamba kyogenda nakyo tosooka kwebuuza
leero nga bwozze nga bukyali togenda nga tozibikidde ppipa yange
leero nno abo olowooza bawulira nga bali ku ssekitulege
leero ono anaaba atya nga mulebevu bulala
leero oyambaddemu eyo nyimpi sin nyimpi mpanvu si mpanvu
leero tulabye anti omugga gwonna gwobooze tunaayita wa
leeta makansi eri nkutoole ku nviiri ezo
lekera awo okugabatukana toyasa essowaani z'abandi
lekera awo okukola emirimu ng'okooye oyonoona bwonoonyi
lekera awo okwonoona amazzi bwotyo abagakima nabo bakoowa
lekeraawo omululu ogwo banno nabo baweeko
lindako okubayita mmalirize okubateera ccaayi mu bikopo
lindako okugenda ndaba lukyawandaggirira
lino ebbwa lya kirobo yeeyankwagula
lino eddgala lye lyokweyoteza ate liri naaba linaabe
lino jjerengesa lyenyini nze terimbula twaliryanga ewa ssenga mu lukoola
lino kkatala ssale teri kuyomba
lino ly'olaba lye jjerengesa akabbiro kaabengabi
lukula mugambe nti bwatajja leero enkya tatawaana
luli lwewayosa munno lwe yali wano era yakusubwa nnyo akalabo ko kaako
lumonde omuto awooma omulidde mugoyo
lumonde waffe nsanze ayasizza
lunninze yakuwadde ebibyo mujjukize abikuwe tawemuka
luno olukomera lw'amabanda kitange yeeyalusimba
luno olumbe lutumazeko abaffe
lwaki buli kiseera obeera owandawanda amalusu
lwaki engozi y'omwana temwajanudde
lwaki munnamwe temumusosolera ku ffene olabye bwakusimbye eriiso
lwaki muwala gwe weeyita erinnya ly akitaawo tolina liryo
lwaki muzaanyisa obuguwa bw'engatto obwo
lwaki mwagala okuliisa omwana omuziro gwe
lwaki oleseewo omupiira ogugwo n'osamba ogwo banno tebaagukugaana
lwaki omwana omwambudde ng'ate togenda kumunaaza
lwaki osekerera omwana wange wamma weeyimbire bibyo vva kw'ono
lwaki tewalinze munno onoonya kumwogezaako nti akusuulirira
lwaki tonywa ku mazzi ologe kasikonda oyo
lwaki weetyebesa awakyafu awo yingira munda eno
lwendiva wano temunoonya nga
lwolidda eno ondeeterangayo ku mpafu ne ndyako anti kuno okwaffe tekukyali muwafu wadde ogweddagala
maama w'oyo omwana yabula bubuzi tewali amanyi gyali
maama wammwe abagambye nti mulonderere obusanso obwo bufumbe ccaayi
maama yatugaana okwota omuliro
maama yatugamba nti ekiwuugulu kibika
maama yatuweerera mu nsimbi ze yafunanga mu kuyiisa omwenge
matiko y'atandika okusuubula engoye enkadde ng'azitundira mu nnalubabwe
mbadde mbagamba mufumbe ku bijanjaalo ennyama entamye
mbadde mpita okuliraana ewa zzimula ne nnengera nga bazimba ekidaala oba waliyo ki
mbadde ndudde okulaba ku mijjonkezi
mbadde ndudde okulaba obukomo obwekikula kino bumpe bambi
mbadde nkujjukiza byewagambye okuleeta
mbalese battikkula mand awali ewa ssenga
mbu kuno batyamwabo yasinga okusogola omubisi omulingi ate taseera
mbu obulwadde obumuluma yabuggya ku butalya bibala
mbu wamma abaana ba musanjiwe baasigal attayo oba lugambo
milundeko amalirize okwasa enku akuwe kweno embazzi
mpeereza ewuzi ezo n'empiso ntungeko eppeesa lino
mu ddya mwe nnaasooka nnaazaalaayo omwana omu yekka
mu katale k'omubuulo muguzeeyoki ndaba engalo nkalu
mu kulonda okuwedde mwe y'aggulira emmotoka eyo
mu luggya ndabye mwaniseemu ebinyeebwa ani abituwadde
mu luwummula luno mbatwala kukungula kasooli
mu mukwesese ogwo owekalungu mwe yesonseka tetuddangamu kumulaba
mu nsawo yange eyo mwasiggaddemu ensimbi zikebere oguleyo eggi