text
stringlengths
0
2.73k
eyo ssekkokko erabika ebiika mu nsiko wano tulaba bwana
ezo enju zoolaba edda zaabaanga sitoowa za ppamba
ezo nno embuzi olowooza zirya ebiwata b'azimanyiiza bisagazi byokka
genda okebere ku kikolo ky'omumwaanyi weendese akasawo kaange
gwe ateewulira bulungi bwoyenga ku lweza n'omwetango neweeyirako
gwe olowooza anaakuteerako emmere nga tomugambye
gwen no nnakyala ataseguka osuubira ani agenda okukugololerako
gwenno weefuule nnampulirazzibi togambanga nti ssakulabula
kale ssebo kankulinde omulundi omulala naye bwolabanga nzizeemu okukuterayo kabega nga ndi mubuya
kale vaawo ani yakugamba okulangira banno obugumba nga naawe oli mukazi
kasooli wo yenna aleese oluyaange
leero gwe atalina lugoye lutukula ogenda kwambala ki
leero luno kinaabula omukombi anti abawanguzi baffe lwe batuuka
lekeraawo okusosonkereza banno lwe balikwefuulira naawe olikinyumya
lwaki bweweyazika enkandaggo yabandi toyagala kugizaayo
mbu ebizibu byabadde nabyo bye byamutuusizza okweyimbamu ogwakabugu
mu ggandaalo eryasooka mwe yazaalira
mu maka ago g'olaba wewali mulerwa eyazaalisanga nyaffe munnange akyatemya
muganda wa mukisa y'asula mu kifulukwa kiri mu koona
muka nguli kaloboozi yenyiye obulamu anti yewadde emmimbiri omulundi omulala
muleke naye akituukeko nyabuleenyaanya yali ayimbirira banne
mundeetere ensandaggo eyo ngiruke ngimalirize
mundeetere ettaala eyo ey'omukono kano ka munakutadooba kazikidde
mundeetere ku ggobe lyange eryo nteekeko mu nva zino
munnange ezo ente zeerunda zokka tezirina mulaalo
munnange omwana yatufaako nga yakakuba embaga
munnange waliwo eyatwokeledde tetwasigazza kantu
munno musanze abulidde mu ntwala oba ayolekedde wa
munywanyi bwonsenera kutubisi nvubirize ku nkalamata
mutwalire eno emmumbwa agira anywako nga bwe nnoonya eddagala eddala
mwana gwe lekeraawo akasungiyira ako olabye bwokubye munno olubale
mwanguwe munone omusawo atujanjabire kweno ente tulabe oba tugitaasa
mwenno musaaga wano edda twanywanga gaabidiba enkuba teyabaanga ya mwero nga kati
mwenno mwegendereze obwedda mpulira ebikwakwaya mu ssanja taba omubi
naye bannange eno entuumu y'engoye yonna mugindekedde bwomu munnangaki
naye mwana gwe oli mimwattoloba bulala ebyo ani abikubuuzizza
ngonosimba lumonde akubalire osooka kukabaza bulime
nkusaba oddemu okubala ensimbi ezo totwala ezitawera n'onekwasa
nze bwemba mmiringuza ettooke lyange seetaagira ddala antawaanya banninde mmalirize
nze ndowooza waliwo amulimirira gwate lwaki buli mulimu agugobwako
nze nnagaana okukolera ebitole by'emmere nkola byange
oba ente ya munywanyi yabadde ki ekibeere kyonna ndabye kizimbagatanye
obunyonyi obwo bwe businga okulya omuwemba
obutiko bwange obwo bukaze mubwanuleyo
obwesige bwange bwonna bubadde mu baze naye anjiye ku ssaawa envannyuma
obwo obutungulu bwosazesaze bunaamala okuteeka mu muceere n'enva
okubikka ebiggya kwa nkya ssaagala mwebuzebuze
okumanya omukazi oyo mukodo teyampaddeyo wadde olwendo lwamazzi nyweko
okuva omwana oyo lwewamukwatira ku kaggo yakaza okusoma bwino
olaba ne munnaffe oli annyuka wamma obudde buzibye
olabye ekifaananyi kyaffe bwe kyanyumye nga bakiwaanze
olimba naawe ssekkukulu eba emu mu mwaka
olowooza abo obwedda abali ku ffene banaalya
olusolobyo olwo lwa ssengaawo luzeeyo oleete lili olwaffe
olwaleero guweze omwaka mulamba be ddu okuva lwe yagenda
olwo oluku ogira oluteeka ebbali ndaba lwonna lujjudde obusagisagi
omukazi omuyombi ate nga lujuuju tawasika
omukulu abagambye mumutwalire embazzi bamwasize enku
omulandira gw'ekkokoowe gwasizza enju ya jaajja bulijjo togulaba
omuliro ogwo gumala toyongera kuseesaamu emmere tesiriira
omutunzi akugambye nti olugoye ndunone nkya ngmaze okuteekako omudalizo
omuwansiwansi aba muzibu wa kumatiza
omwami wange yasuze mungalabi za munnywanyiiwe mulimulaba luli
omwana abadde abuguutana anayokya banne nnyweza entamu eyo eyokya
omwana agabatukana ki anaalinnya ku misumaali
omwana ataalya kumatungulu teyannyumirwa buto
omwana bwotamuyigiriza kuwa kitiibwa bantu ng'ali awo oba omukotogedde
ow'olutondotondo ensi agiibeeramu bwa nnamunigina
owange gwe omubiri gwo gwabaaki bwotosaaba ku bizigo tonyirira
owange yanguwa olye akatogo kawooma k'okya oyagala kulya kawolu
owange gwe wali olidde ku nnyama y'envubu
owange munnoowo owomuddembo nga yalabye okubbibwako ekidduka
owulira obuluulu bandiba ng'abagole batuuse mwanguwe twambuke
oyo atalina gweyali ayambye atusuubira atya okumuddukirira
oyo bwakubulirako mu katale totegana kunoonya tewali atamumanyi
oyo gw'olaba yeyatutaasa omutemu eyali atulumbye mu matumbi budde
oyo mwanaawe naye ate amuyita mutoowe
oyo omusajja buli lwajja wano okwekoppa yegonza naye okumubanja omala kufungiza
oyo tamanyidde ddala kufumba olaba alemwa kwefumbira asiibye njala
oyo tayagalira ddala kunaaba yeetaaga kuteekako liiso lyogi
oyo ye lumonde w'omugole gwasoose okukuza akuweereza olyeko
oyo yeeyaatuyigiriza okuzaanya ggogolo nga tukyali mu kyalo
ssebo agenda ono mugenyiwo abadde abuuza wuwo wuuno genda naye
ssebo nsasira ndi mukazi munaku sirina ajuna akate kaange kandekere
ssendagala ani yamuyigiriza okuvuga emmotoka
temulinnya jjambula oyo aliko ebisaanyi
tewali awa kitiibwa byabugagga byataateganira
togeza n'omutuma ensimbi zo agenda kuzinywamu nkangaali
tosuubira kukungula kasooli gw'otaakoola yenna ensiko yamutta
totegana kwanula ngoye etonnya kuno eva luuyi luli so si eno
vva mu kuniina omwana muwe ensimbi ze
vvaawo nnawe teweetuulako situka wekolere akawujjo onywe ku mubisi
waliwo lwetumusanga nga yenna asaabanye ettaka naye leero anyirira
waliwo n'abatamanyi nti mwami ndifanaagange ye w'omuluka guno
wamma eyateze akamasu y'ategaanga emmese bbiri omulundi gumu
wamma naawe wamanya nga mutabani wange yeewera okunkuba n'osirika
wamma owoomye ani yakulondedde akagoye ako omunneebaliza
wamma oyogedde embaliga zitta amaka tuzeewale
wategedde ebyavudde mu kukebera endagabutonde omwana si wammwe
wawulidde omusika wa munywanyi wo ekibanja bweyakiruyweddemu enguuli