text
stringlengths
0
2.73k
wetwakulira ng'olisozi olwo lwonna kibira naye kati laba mayu mereere
abaabadde banonye amazzi ndaba ate bakomeddewo awo oba kiki
abaagala okuyiga okuluka emikeeka be baliyo olwaleero abeebibbo ba nkya
abaali abakoddomi abalabye batuyittako kuutwe ng'abatatulaba ensi eno
abaali abatabaazi bonna baayitiddwa baweebwe emiddaali gyabwe
abaali ba nnanyini yo baagitulekera tugikuume ate gwe ogyagazaaki
abaali bamanyi ebyedda bagenda bagwaawo ate bagenda n'okumanya kwabwe
abaali bazze okutusimira oluzzi baddayo dda byabalem tebaddanga
abaana abaali bakuyambako badda wa
abaana abo bwe badda batwale embuzi ezo ku ttale
abaana abo mubanaazeko ndaba batandise okusumagira
abaana b'oyo bagaana okusoma bonna bakola mu kkolero lya mategula
abaana b'oyo bonna abazaala kiro
abaana b'oyo bonna y'abatuuma linny alye oba gaali gaweddeyo
abaana ba mugandaawo bonna ababatiza leero
abaana ba muliranwawo bagenda kumala musomo tolema okuyitaayo
abaana baaluno tebamanyi nga bo bwefaanana bagiyise kisero
abaana bajojolikana ng'abali mu katale
abaana bammwe bonna sibaalule oba mulowooza ki temuzaaya omusaayi
abaana banno bakyaliddwa omulangira twasuze ku tebukye
abaana bo batya ewange mbu waliyo embugo mu ddiiro
abaana bonna abasalidde emmimbi atuusa olulwe y'anyuka
abaana enku zibalemedde wali ku kabira
abaana mbasanze bazaanyisa enfudu nga balowooza kiyinja
ababadde bakunoonya obalabye
ababbi babadde bekweka mu kifulukwa kyawali ku biyinja
abagenze okuyigga emisu ate tebakwasizza ffumbe
abagoma bakugambye nti tebalina kebazizza eri mumwa
abakazi abakolera mu katle ako baagala nyo eby'endola
abakazi abembuto mwenna babayita engulu eri wano wasigalewo bayonsa bokka
abakinjaaji baawali beekalakasizza lwa kubagobawo
abakoze omulimu gwange baliwa mbasasule nga sinnagenda
abakuba amatofaali emmanga bayonoonye ebitooke byo byonna
abakulu baakutumyeki gwe amaggula amaaso tolaba nga enjuba egolooba
abali bakunoonya wabalaba oba anti ssaddamu kubalaba
abali okumpi awo muwulidde byayogedde
abalidde amapeera gange beeroope mangu nga sinnanyiiga
abalimi be kyaggwe bettanidde okulima endaggu ozirabye
abalimi ennaku zino be bali ku mwanjo mwe mulindeko
abalina abaana abatagemebwa ku luli enkya lwamwe
abalina awalimwa ebissera bino be bali ku mwanjo
abalina kuno amasaanyalaze olowooza bali bameka
abalongo abo bansanyusa bambi tebateNGNGana
abalongo tebakutumidde balaamye bulaami
abalya enswa kuluno bali ku mudido anti ebiswa byonna biseese amatabo
abanaagenda nnange mwanguwe obudde butuuse
abanaasaba enkya mutegeke engoye zammwe
abange abawuuba emikono olubbobbo mululeseeyo emmere munaagireetera wa
abange eddiro lyonna nga lddugala
abange enju nga temugitaddeko bumooli abantu tebaafe ekiziyiro
abange mulindaki awo sabatumye mugende munnonere amaggi
abange munnindeko mbalaba mwagala kundeka
abange mwe abaasimye kadoma enkumbi mwagitaddewa
abange nga mpulira emiranga emitala
abange nga ndaba emikomba gino mitono ginaamala
abange temwerabira okutwala abaana okubagema
abange temwerabira okuziika omuliro ogwo
abange twanguwe ebikola byatuusiddwa dda ffe balindwa
abantu abasenga mu nsozi ziri bonna balunzi kyova olaba nga emmere balya nsake
abantu abo bakuluppya nyo bwobewolako ensimbi bakuwa zitawera
abantu baakuno bajoozi nnyo baatema ensambya zange zonna oba mbakolere ki
abantu balamu bazibu omwana teyatunze ente yabanne nga tebategedde
abantu ennaku zino batabuse nyo emitwe
abantu tebakyamanyi kugerera ku baana baabwe ngero
abasajja abamu bagaana bakyal abaabwe okukola mbu bajja kubaliga
abasajja beeno abasing tebaagala kukozesebwa bakola gyabwe
abasalamala abaabadde basala emiti gyo b'agenze tebaansasudde
abasinga bakulaba bulabi tebamanyi nti gwe mukulu wange weyanjule
abasinga bwe bagobeddwa mu kibuga abalala tebalinze nabo ne bakyaabulira
abasooka kuno baatukolera ekkubo eddungi
abasserikale b'akedde kwaza wuwe oba yabuza biki
abatasobola kwanguwa tubaleke bajja kutulwiza
abava ewuwo bonna basanyufu bulala obawadde kiki ekyo ekibasanyudde
abaweesi bonna baasenga nzivunuuko tumya eyo gye baba bakunonera effumu
abazaanyidde munkuba bwemulwala temutuwoleza
abeeyo bonna bakyala teri muntu
abeeyo mwesiimye etonnya buli lunaku naye eno ewaffe pereketya yekka
abewammwe banaatera okweraliikira nga tebakulabako ggira odde okwaboobwe
abo ab'asenga awo tebeesembereza muntu yenna oba baakulirawa
abo abaana balekere munaabwe twanguwe tusange okuziika
abo abaana bonna tekuli gw'azaala ayamba bayambi
abo abaawo be bayiwa wano omusulo gw'owulira gucuuma
abo abalenzi basobola okutikka enku ezo bagambeko olabe
abo abanyumya olulondakambe tojja kubasobola gira tugende
abo abatavaayo bagambe nti nze mbalese banaansangayo
abo abatongo tebateNGNGana ate ekyewunyisa baawasa baaluganda
abo b'ansobera ekyeggulo bakirya matumbibudde
abo banno bagambe bakendeeze ku maloboozi tebazuukusa omwana
abo bonna b'olaba ba munju emu eya nguli kapalaga
abo bonna bava kuyigga mbwa eyagudde eddalu
abo bonna boolaba awo balebesi tobeesiga nyo lindako nnanyini bintu atuuke
abo bonoonyi nyo b'alese ne ggaali ya jjajjaabwe bagyonoonye
abo boolaba balina entondo nga nnyabwe
abo ekyeggulo bakirya enjuba y'akagwa
abo nno abasula mu ggoloofa olowooza baagala okubakyalirakyalira
abo nno beebakola emidalizo giri gye nnakuleeterako
abo totegana kubatumira mubaka togenda kubasangayo
agambye nti tajja kukola yalwadde olukya
ago amabala geetaga ssaabuuni wa buwunga genda omunoonye
ago amaggwa geetaaga kwokya