text
stringlengths
0
2.73k
ago amakabi gonna mugawa waaguleko
ago amatanta gooleeta wano tegakola gazeeyo eri ewammwe
ago amayinja mugaseetuleko tusobole okuyuyitawo
ago amayinja tegamal akutabula nkokoto eyo mwongereko
ago amazzi agali mu ppippa temugafumbisa gonna gawunya amafuta
ago amazzi galimu enkoonge temugafumbisa enva
akaali akatale kati bazaanyiramu mizaanyo
akaana ako kajagujagu kyenva nkaagala
akabuzi kabadde keebuusa nekasamba ensaka yo eyatise
akabwa ako kayigganya enkoko z'abaana
akabwa ako mukegeendereze eggulo kaalumye musoke oluteega
akadaali ka munno kazeewo w'okasanze
akafumbiro ka nnyamwe kaakutte omuliro ne kasaanawo
akagambye munogere ku kamunye n'omujaaja omutwalireko
akagumba ke kyennyanja ke kamufumise kyava atambula ngawenyera
akakoko ako kaatandise okukekema nga ziri tezinnaba
akakongovuleko nga kaleenya wataddeko ki
akalembereza keyafuna ennaku zino kamuyambye okwekolera ebibye
akalobo ako kakozesebwa mmanju tokatwal amu ffumbiro
akalobo ako kateekemu olubugo owone amazzi okukuyiikira
akalobo omukamirwa amata k'abuze muleete omukebe ogwo tukamiremu
akambbe ako katubulirako mu lusuku okaggyeewa
akambe kange kayise mu kikolokolmba ekyo kaveeko amasanda
akambe kange temukatwala jjo mwakazizza kaliko amalibu
akamwenyumwenyu ako k'olaba kaakufuna bweeza
akasaale kebamuteeba kaamumala akacca ate akyetoolatoola
akasajja ako kagabi nga jjanzi wekagabidde nga tekalina olwo bwekalifuna
akasana nga kaaka kazimeera olowooza tetufunayo ekire
akasengejja ka maama kateeke mu kkabada
akasimu kange ako temukabuza kagenda kukoola binyeebwa
akaso ako k'ampagalireko nsalesale emmere eno
akasolo akasinga amaddu mpisi
akasolo kewasse kayitibwa lunywamunte
akasomero ako k'asomesezza abanene abawera naye tebadda kukaddukirira
akasoobo ako ke k'akuntamya
akataalako katussa erikka lwaki tokazikiza
akatadooba kange okatwalawa leeta eno gwe tokakasuka
akatale kaawali ku nkulungo kaggaddwawo lwa bukyafu
akatambaala kaamuno kalondewo mangu w'okasudde
akatiko ako mukaleke kamala okwanjulukuka
ako akajanja bwotokakomye katusse okukukyaya
ako akatanga akakaluba katyo mukasaamba mutya
ako ka nnaswi tokagayaalirira kajaanjabe mangu
akosolya k'enju konna k'aguddemu
akugambye nti tasobodde kutuuka obubaka bwe bumpe mbumutwalire
amaanyi ago g'okozesa ng'olwana singa gossa mu nnimiro
amaaso g'omwana oyo gaalwenge oba gaani kitaawe teyali bwatyo
amaaso g'oyo tegalaba wala yetaaga ggaalubindi
amaaso gange oba tegakyalaba bulabi anti otuuse ssikutegedde
amaaso go nga gaffudde ebinyinyi lwaki togafunira eddagala
amaato ag'asogolerwamu omwenge tegakyalabika
amagezi agali mu mutwe omwo geesera bwesezi
amagi g'enkofu g'awooma okusinga ag'enkwale
amagi gonna enkoko yagazira
amagi gonna gamwatiseeko nga agasiba ku ggaali
amajaani agali ku ccaayi maka bulala mwongereemu ku mazzi
amaka agaddirira gega mukoddomiwo
amaka ga muliraanwa gaguddemu akasambattuko abaana be ate tebattiNGNGanye
amalaalo ga kyayerambuga gasimuddwa
amalagala galinde gawotoke olyoke ogabyale
amalagala ge twasala gonna gaakalirawo teyagabyala
amalwariro g'awono gantama g'abuwanana bulala bonna bafa nsimbi
amanda gano gakaddiye nnonnerayo amalala mpulire ku birango
amangu ddala nga mutuuse munkubira ku ssimu mbaweereze entambula
amasanda ago mugegendereze bwegagwa mu liiso liyinza okuziba
amasanda g'omutuba gegendereze tegava mu ngoye
amasanda ga lumonde agagudde mu ttaawo lyange olowooza tegalemeddemu
amasanda ga ppala ge gasiba ekiraka obulungi genda oganone
amasaNGNGanziira ago tegaggwamu byawongo
amasasi gewawulidde gavuga tegabadde gaabusa ate envubu eri eyakufubutula yalutonze
amasiga ago bwotogatereeza gatuuse okutuyiira enva
amasomiero gonna gaddamu leero
amata g'omwana g'abugumyeko ogataase okufa
amatofaali go gonna gayiise ne gamenyekamenyeka
amatu g'oyo omwana nze yansobera gabeera gamusiiwa buli kiseera
amawulire gasaasaana dda nga bwe wazaala abalongo
amayumba ago ga muntu omu
amayuuni gasinga kuwooma nga gaanikiddwako
amaziga go agatakoma gatutamye sig we osoose okubbwa tulekese
amazzi agaayiise wano g'avudde wa
amazzi ago galimu omunnyo toganaaba mu maaso
amazzi ago matono g'afumbire ku ssigiri
amazzi bwegeesera ng'otabula obusera
amazzi g'enyanja eyo ga kiragala gwe togalaba
amazzi g'oyo gantama tagafumbako
amazzi ga munno galeke gawole ayagala kugamisiza ddagala lye
amazzi gafuuka gakawereege ensangi zino tuganona k ku nnyanja
amazzi gateekemu olubugo galeme kusammuka gatyo
ani agenda okusaasulira ebisale byentambula
ani akaleezezza oluyiira lwe nnengera lutuntumuka
ani amanyi okulera omwana ansitulireko kw'ono
ani andabidde ku kambe kange
ani asaze omwana wange ebigooli mu nviiri
ani aswankula ogwo omuze nja kugubakubira
ani atamanyi nti ebibira bya mugaso
ani ayasirizza wano amagi
ani gwemwalabye asimba ensekese z'enku ku mutuba gwange
ani gwetuba tutuma agende abikire ab'enakitokolo
ani oyo akaaba simanyi baanabange muzeemu okuzaanyira ku mmunyango
ani oyo aya ayookeza akabaani akawunya obulungi nange ampe ntwaleko