text
stringlengths
0
2.73k
ebibinja bitadde essira ku kusomesa abantu ebikwata ku mateeka ge'misolo
uganda erina abalonzi obukadde kkumi na mwenda n'obutundutundu buna
omukolo gw'amattikira guliyo lwakubiri nga kkumi na munaana omwezi gwa museenene omwaka guno
abamu ku abo abeesimbawo ku bwa pulezidenti beerabirirwa ddala oluvannyuma lw'okulonda
bizineesi zirina okufuna enkola empya ekwata ku by'ennyingiza
jjajja wange omukazi yampa enkoko bwe nnagenda okumukyalira
ppuusi ekozesa amannyo gaayo n'amaala amasongovu okwerwanako
beera wa ddembe era weewale engeri z'akavuyo zonna
abo abatunda ebintu ebiguliddwa gavumenti balina okukwatibwa
tugenda kulya amagi amafumbe ku ky'enkya
omwami wo aliwa
ebiragiro by'amagye birina okugobererwa
omukungu akulira disitulikiti ayigiriza abantu b'omu kitundu engeri y'okwekuumamu ekirwadde
ttiimu y'omupiira eyo yateeba ggoolo mu ddakiika essembayo
ensiri emu enkazi ebiika amagi agali wakati w'ekikumi n'ebisatu buli lubiika
abantu abamu tebannafuna musaala gwabwe
baayitibwa mu kkooti
kampuni terina ssente kufulumya masannyalaze ga njuba malala
takisi zibadde ntono leero
pulojekiti tejja kuggwa mu budde
abakulisitu bawanirira amakanisa gaabwe mu by'ensimbi okusobola okukola emirimu gy'ago
ebiragiro bya kkooti biyina okugonderwa
abasuubuzi b'oku nguudo baleeta omugotteko gw'ebidduka obukyafu n'okusuulasuula kasasiro
enteekateeka y'ebyendya ennungi ejja kuteekebwa mu nkola mu bbanga lya myaka etaano
bayogera ku lukungaana lwa bannamawulire
ekirwadde kya mukenenya kitta
essente zisobola okweyongera akaseera konna
abantu bangi tebasobola kuyambibwa mu mateeka olw'okuba baba tebalina ssente
pulogulaamu ziyamba abaana okuyiga okukula n'okusoma okuva mu buto
abasirikale basaanidde okwambala giraavu nga bali mu bifo awazzibwa omusango baleme okwonoona obujulizi
ettaka ly'ekika teririna kugabanyizibwamu nga disitulikiti zigenda zitondwawo
yattimba ebifaananyi by'abaana be mu nnyumba yonna
omwoleso guwa entimba y'ebifaananyi esinga ku musono gw'edda
abasiraamu bassa nnyo ekitiibwa mu bakulembeze baabwe
ebiba bivudde mu kulonda kwa pulezidenti birina okulangirirwa ku leediyo
minisitule ejja kukwasaganya emirimu gyonna mu pulojekiti
abaminsani baalowoozanga nti embugo zaayambalibwanga basamize
enkola erina okuteekebwawo okubonereza abasomesa abayosa mu masomero
abantu b'ekyalo baakubirizibwa okukolagana ne poliisi okusobola okulwanyisa obumenyi bw'amateeka
disitulikiti terina basawo kuziyiza obulwadde bw'omusujja gw'enkaka
olukungaana lw'emizannyo lwali namboole ku kisaawe
baakola ennongoosereza mu ssemateeka w'ebibiina by'obufuzi kibisobozese okufuna ku ssente za gavumenti
twetaaga okuzuula lwaki ensonga etwala obudde buwanvu ku bwe twasuubira
china etaddewo enkolagana ne uganda mu by'enfuna
ku lunaku luno abasiraamu bagabana akatono konns ke balina n'abalala
yali mumerika ayimba ennyimba z'eddiini
omusango gwasaziddwamu amangu ddala nga bakiriziganyizza okukola
olunaku lw'ebyemizannyo lwayongezebwayo
mu uganda amasinzizo gaggalwawo mu biseera by'okubalukawo kw'akawuka ka kolona
omuduumizi wa poliisi yakyusibwa n'atwalibwa ku sitenseni ya poliisi endala
yakikoze nga kitegeerekeka
enguudo ezisinga obungi ziriko enfuufu olw'okuba omusana mungi
ebitundu bingi ebirima taaba bisanga okusoomoozebwa kw'ebbula ly'emmere n'enjala
mukama nkwebaza olw'olunaku lw'eggulo era nangirira olunaku olw'emikisa olugya
omulamuzi yaleeta obujulizi mu kkooti
bannabyabufuzi abamu bakiikirira byabwe ku bwabwe
ekirwadde kya korona kikoseza ebitongole byonna eby'enfuna
amaka agamu tegasobola kusasula masanyalaze
baasomye ebbaluwa yaffe ey'okwemulugunya leero
enkulaakulana eno wabula yava ku kusalawo kw'akakiiko akateekateeka ebisomesebwa
abantu baakuuma emirembe mu kiseera ky'okulonda ne mu kiseera ky'okubala obululu
ensonga yagitegeeza poliisi
abakungu ba gavumenti nga baminisita abakozi ba gavumenti ba kwongera ku ddoboozi ku kulwanisa enguzi
kampuni ya yinsuwa yasasula ssente ez'okudaabiriza ennyumba yange bwe yasaanyizibwawo omuliro
kitwala ki pulojekiti okuyitamu mu kitundu
ebitundu ebikiikirirwa ab'oludda oluvuganya tebitera kufuna buweereza bwa gavumenti
twakola olukungaana n'abatuwa ebintu okukakasa nti baabituwa
abaduukirize baakozesezza ebyuma eby'enjawulo okuggyayo abantu abaabadde mu kizimbe ekyagudde
omuntu yenna alina okuba n'akalagaane okusisinkana n'omukulembeze w'eggwanga
emmere erimu ebirungo byonna si kintu eky'abagagga bokka wabula ddembe lya buli omu
omulimu gwa uganda telecom gwa kuvuganya nnyo
bajja kufa enjala singa tewabaawo avaayo kubayamba
bonna baali bambadde byeru
ozaalibwa mu disitulikiti ki
weetaaga okuteeka omukono ku ndagaano
mu ngeri eyomugaso nkola ey'okutandikawo n'okukuumira abagoberezi mu byobufuzi
bannamateeka baagala okumanya ensonga lwaki abanoonyi b'obubudamu babasasuza
ttiimu y'omupiira eyo yatandikibwawo emyaka egisukka mu kikkumi egiyise
abantu balina okukolera awamu okusobola okwongera ku nkulaakulana mu disitulikiti
amakelenda agaggyamu embuto tegasaanidde kutundibwa eri bavubuka
bemanya abeera mu kukuubagana ne minisita anite
bazadde bange batya katonda
eddembe lirina okubeera mu gwanga lyaffe
balina okumalawo okulwanagana mu bibiina byabwe
sisobola kukikkiriza nti kati bamukwano
entebe zaali tezimala
yagootaanya omukolo
baateesa n'omukungu okubasonyiwa
omulenzi yafa nga tannawozesebwa
ntereka ssente zange mu bbanka
abakulembeze b'ennono balina omululu n'okweyagaliza
bannabyabufuzi n'abawagizi baabwe batabula abalonzi n'abawagizi
pulaani y'ekizimbe yayanjulibwa olukungaana oluvannyuma lw'okusaba
obulamu bwe bwagenda bwonooneka bwe yagenda akula
poliisi yasabye famire eve ku ttaka mu bwangu ddala
twetaaga okutumbula eddembe mu bukiikakkono bwa uganda
oteekwa okuba nga kati otamidde
ssirowooza nti okusoma okw'oku leediyo kulungi ekimala
abantu baweereddwa amagezi okukomya okulya enguzi
nnawa abaana babiri ab'oku nguudo sillingi enkumi bbiri mu za uganda bagulemu emmere