text
stringlengths
0
2.73k
obulamu bwange buli mu katyabaga
oyinza okutuyamba okukola akabonero ka kampuni
obujulizi buggyayo amazima nti ekintu kyaliwo
abakulembeze ku disitulikiti balina okuba bumu okutumbula obuweereza
enkola ey'okukozesa emiziziko tennatandika kukozesebwa
alina bizineesi nnene nnyo
ekitongole ky'ebyenzikiriza kiwadde abakulembeze b'abanoonyi b'obubudamu ebikozesebwa mu kutendeka
rwanda ne burundi balwawo okunoonyerezebwako ku musingi gw'amaanyi g'amagye
abantu bagyayo yingini ezikuba amazzi ku kkolero ly'amasannyalaze
kizibu obukulembeze mu kigali okwesiga okwewaayo kwa museveni ku ndagaano yonna
emirongooti girina mugaso ki
tasobola kubaako ky'ayogera ku kulwanirira obutonde
omukyala yafunidde akawuka ku nsalo ya uganda
olugendo lwenkana wa okuva ewuwe okutuuka ewammwe
oluyiira lwayoka omuddo
pulezidenti akyali muganzi eri abantu
ayagala ekitundu kyabwe kifuuke ekibuga omwaka ogujja
abantu balina okukolagana ne ttiimu y'abasawo
ebyenjigiriza byafuna ssente endala
emmotoka eyo yiye
bizineesi nnyingi ziggaddwawo olw'ekivundu ekiva mu kasasiro oyo
osasulwa singa omaliriza obuvunaanyizibwa obukuwereddwa
yafuna akakisa okusomera mu america
guno omusango gwa maanyi nnyo
ddi era bukwakkulizo ki omuntu mwateekeddwa okwogerako eri bannamawulire
malac yavumiriranga nnyo enguzi mu gavumenti ya museveni bwe yali ali mu uganda
ennyumba entono zisobola okutegekebwa obulungi okugyamu ebintu ebingi
obuvanjuba bwa uganda bukulaakulanyiziddwa
osaanidde okukulembeza bakasitoma mu bizineensi yonna
weetaaga okuba ne intaneeti okusobola okukozesa emikutu emigattabantu egitali gimu
bantu ki abasinga obwetaavu
omwami wange yali nnange mu kuziika kitange
bizibu ki ebyekuusa ku buliisamaanyi
abalamazi bangi bajja e namugongo ku lunaku lw'abajulizi
ekibiina ekinaawangula kyawandiikibwa ng'ebula ekiseera ebifo ebironderwamu biggulwewo
kojja we yafiira mu mirembe
bannassaayansi boogera ki ku kirwadde kya corona
ennaku zino abaana abawambibwa battibwa
gavumenti eruddewo okusindikaa ssente ku disitulikiti
baana bameka abazaalibwa nga tebatuuse
olina amazzi amafumbe mu nnyumba
abavubuka beetegefu okweyunga ku bakulembeze baabwe okulwanirira ettaka lino
abayizi ba yunivasite bakulu ekimala okusobola okwesalirawo
amayumba amalala mu bugwanjuba bwa nile gajja kuyungibwamu amasannyalaze
abantu bagaguza ssekukkulu n'olusookoomwaka mu ngeri ez'enjawulo
amasomero agasinga obungi mu bitundu eby'omu byalo galina abasomesa abatalina bisanyizo
mu nkumi bbiri mu musanvu uganda yakyaza olukungaana lw'amawanga agaaliko amatwale ga bungereze
leero lwe lunaku lw'okulonda
gavumenti esaanidde okuteeka ssente mu projekiti endala ng'oggyeeko projekiti ya bonna bagaggawale
omukiise mu paalamenti yaliko mu uganda people's congress ne national resistance movement
oludda lwa anite lugamba nti uganda telecom kkampuni ya gavumenti
ki ekiviirako embunyisa y'amasannyalaze obutamala
okugamba nti weebale tekirina kye kikugyako
weerabirire bulungi
enkuyege zifuuse ensonga ennene ennyo mu nnimiro eno
ba minisita baba bantu ba muwendo nnyo mu ggwanga
yamazeemu abantu bonna amaanyi
akakubo kaalimu ensiko nnyingi
pulezidenti museveni yalonda catherine kusaasira
muzukulu we yamukyalira
enkuba ekendedde
enkola y'okunoonyereza ku byobulamu eyamba ku basawo okukola okusalawo okulungamu
kyetaagisa ssente nnyingi nnyo okujjanjaba ekirwadde kya kookolo
abantu batema emiti okusobola okufuna enku
okuliyirira kw'akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere mu afirika eri largadere kulina okukubiriza okuddamu okuggulawo abasigansimbi mu ddembe ly'abantu
yalina okusasulira ekitabo ky'essomero kye yabuza
kino kireetawo ebibuuzo ebirala bingi
eby'okukozesa ebiriwo tebikyagasa
lwaki abayimbi bangi baagala nnyo okukozesa amannya amalala ge beetuuma mu kifo ky'okukozesa amannya gaabwe gennyini
ekkanisa efuna obugabirizi naye tebumanyikiddwako kye bukola oba gye bulaga
akozesezza ssente okutandikawo ennimiro y'enva endiirwa ku bugazi bw'ettaka lya yiika emu
emikuttu emigattabantu gye gimu ku makubo agakozesebwa okubunyisa enjiri ya katonda
waliwo ebyogerebwa eby'abasawo okubba n'okutunda eddagala mu matundiro g'eddagala ag'obwannannyini
gavumenti erina obuyinza okusalawo enzirukanya y'emirimu mu bitongole byonna
enkayaana z'ettaka zirikoma
obutale obusinga mu uganda tebuyina bibangirizi we buyinza kugaziyirizibwa
nnabasaba bampe ekisenge mwe mba nkolera
abakungu bali ku mukolo gw'okuggulawo ekyuma ekikekkereza amazzi
olowooza omusomesa anaanyiiga singa tetubaawo mu kibiina leero
ebinnyonyi byalya empeke za kasooli
ettaka ly'obujjaja bulijjo lya nsikirano
buli ssimu ey'okuseereza esobola okubaako yintaneeti
omukulu w'essomero lyaffe ajja okwogerako eri essomero enkya
ssentebe w'akakiiko asabye obwerufu mu ngabanya y'obuyambi buno
yatema amatabi agamu ag'omuti gw'omuyembe
ensi za east afirika zisaasaanya nnyo ku bukuumi okusinga ekintu ekirala kyonna
obubenje bw'oku nguudo obusinga bubaawo kiro
minisitule ky'ebyettaka ekola ku ensonga wamu n'emisango egyekuusa ku ttaka okwetooloola eggwanga lyonna
abakugu bagamba amaanyi galina kusooka kuteekebwa ku kutereeza bukulembeze
olugendo lwaffe lukoma leero
okunoonya okwenkanyankanya kwakendeera oluvannyuma lwokujja kwa terefayina ez'okusasulira
kirabika ebbeeyi y'amafuta egenda kusigala waggulu okumala ekiseera
yali ayagala okulaba amawanga ga afirika nga gagattiddwa wamu okufuuka eggwanga limu eriyitibwa united states of africa
kaweefube ajja kutwala ennaku nnya mu gwekkumi mu buli disitulikiti mu uganda
gavumenti eyina okuteekateka okutendekebwa kw'abasawo
omudumu gwa kazambi bwe gwayabika ekivundu kyabuna ekitundu kyonna
abakungu ba gavumenti abalya enguzi basaanidde okunoonyerezebwako
ekitongole kiwaddeyo lipoota yaakyo esooka
waliwo omwagaanya mutono nnyo wabweru wa gavumenti okuvujjirira okuvuganya okulungi
ateeberezebwa okuzza emisango akuumirwa ku poliisi