text
stringlengths
0
2.73k
abagoba ba biroole abavugira ku nguudo ennene balina obumanyirivu bungi
yeegatta ne mukwano ggwe ne batandikawo bizineesi
tuyinza tutya okulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu bitundu
enkulaakulana eno ezze emyezi ebiri oluvannyuma lw'abakozi b'amasimu lwe yafulumya emigabo gyayo
lwaki obwakabaka obumu tebukyaliwo
obuwumbi musanvu obw'ensimbi za uganda bwateekebwawo okuzimba ekisaawe ky'ennyonyi e hoima
waakabuuzibwa emirundi emmeka kati
buli mmotoka ekkirizibwa kutwala basabaze basatu
abakulembeze b'ekkanisa abakulu battikira abapya mu buwereza
kya nnaku nti abantu bakyafa endwadde ezeewalibwa
abantu abalala baanirizza eby'amaguzi ebipya n'obuweereza ku katale
disitulikiti yeetaaga okuwa abantu amazzi amalungi era amayonjo
emiwendo gy'ennyama n'amata gikoseddwa nnyo
abanoonyi b'obubudamo beemulugunyizza nti tebasobola kwetuusaako wadde obuntu obutonotono ab'omu maka gaabwe bye beetaaga
mukwano gwe misirikale wa poliisi
ani mwogezi wa poliisi
maneja waffe yalekulira wiiki ewedde
okusaanyaawo obutonde bw'ensi kikosa ebintu ebiberamu n'enkuuma y'amazzi
amawulire ga leero gabadde ganyiiza
pulezidenti yayogera ku nsonga z'eby'okwerinda mu ggwanga
maama we yatuwa ekinywa kya karoti
pulezidenti w'ekibiina ekiddukanya omupiira yasuubizza nti emipiira gijja kutambula bulungi
abasibe abamu baabattirawo so ng'abalala bawangula mu kikolwa kyabwe
omuwala mulekwa gwe ndabirira yakabasanyizibwa nga wa myaka esatu
lwaki emisango egimu girwawo nnyo mu kkooti
emirimu gy'omu faamu gikooya nnyo
emiti egisinga obungi mu kitundu ekyo gyatemebwa okusobola okufunamu embaawo
kye nneetaaga kyokka kwe kufuna essanyu
ebikoola by'ekimera bikwatiddwa obulwadde
bwe yalwala yatwalibwa ku musawo w'ekinnansi
nsobola ntya okufuna ndagamuntu empya
abatuuze baanyigira nnyo abantu abaamenya amayumba g'abantu
waliwo pulogulaamu nnyingi ez'okweggya mu bwavu ezeetooloorera ku byobulimi n'obulunzi
bafuna obubaka ku budde bw'okusimba enkozesa y'ebimera ennungi n'ebiddiria oluvannyuma lw'amakungula
akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere mu afirika kali wansi w'amateeka ga swiss
baabawa ebikwata ku akawuti kwe banaasindika ssente
yafesi y'essaza yetoolozeddwa olukomera
gavumenti tewadde basomesa maanyi
mbadde ngoloola ngoye zange
abantu bangi baafiirwa ebintu byabwe olusozi olwo bwe lwawanda omuliro
mulimu ebintu bitono gavumenti by'eyagala
omulimu gw'okuzimba gugenda kuba gwa bbeeyi nnyo
omuwendo gw'abantu mu uganda gukula mangu
okutumbula abantu kijja kuyamba okukendeeza ku bwavu
omu ku bazannyi abalungi aba onduparaka yakomawo mu kibinja oluvanyuma lw'obuvune
ssentebe wa disitulikiti akola mulimu ki
gavumenti ezimbye amalwaliro amapya mwenda okukola ku balwadde ba corona
nnanywa kyaayi n'emberenge
ndoota buloosi oba kituufu
ebyobulambuzi bifuuka ebiyingiza ensimbi ennyingi wano wadde nga gavumenti yaffe eteekamu ssente ntono
abayimbi baba n'abavvujjirizi bangi okwetooloola ensi
tewaliwo kifo mu katale okubeeramu abasuubuzi bonna
kyakunywa ki ekisinga okukuwoomera
njagala kwokya ku kasooli
kirowoozebwa nti ezimu ku ssente ezassibwaawo okuyambako abantu mu kiseera ky'ekirwadde kya covid zabbibwa
omuwendo gw'abafa gweyongera okulinnya buli lunaku
abantu abamu baagala kugula muceere guvudde mu nsi za bweru
obulwadde bw'akawuka buno busobola okwewalibwa
ekitongole kirina okuteekawo ebifo okusobozesa zi disitulikiti okulwanyisa okubalukawo kw'ebirwadde
yalondebwa okuba omukulembeze w'abawala ku ssomero
abatuuze bali bulindaala okulaba nga basanyusibwa ba kyeruppe
ab'amaggye bakwata e mundu
ennaku zino abantu bagenda mu byobufuzi kubanga baagala omusaala omulungi
amateeka galina okubagibwa mu kulwanyisa kisaddaaka baana
omukozesa n'omukozi balina okukkaanya ku musaala
buli mukozi yeetaaga okwongezebwa omusaala mu kaseera akamu
abagagga abasinga obungi bajja kubeerayo ku lukungaana
bonna baali beetaagibwa omukolo okugenda mu maaso
ffe bannamawulire abali mu kukwata eggulire
omulangira yatulambuzza olubiri lwe
pulezidenti ajja kwogerako eri eggwanga ku bbalaza
abawagizi baasonda ensimbi z'entambula okugenda okulaba omuzannyo
laddu yamukuba n'afa
yeewuunya nnyo obuvumu ababbi abo bwe baalina
ffe ffekka abasobola okuteeka mu nkola okusimba emiti
ensonga ezisinga obungi ezikwata ku by'okwerinda zaagonjolebwa mu lukungaana
disitulikiti zirimu enguudo embi
kiki gavumenti ky'eyinza okukola okutumbula ekitongole ky'eby'obulambuzi
okutendekebwa kwabadde ggaba ku ssengejjero ly'amazzi mu kampala
okunoonyereza kwo kwazula ki
abakulembeze b'ekitundu beetaaga okwogera n'eddoboozi limu
abateeberezebwa bajja kutwalibwa mu mbuga z'amateeka okuwulirwa obulungi
osuubira ddi okukungula ebinyeebwa byo
poliisi yazuula emirambo gya bantu babiri okuva mu kizimbe ekyali kigudde
nnasabibwa okukola sitatimenti ekwata ku kubbibwa kw'essimu yange
obutabanguko mu bavubuka bweyongedde
lwaki abakyala bazaala abaana abatatuuse
taata wange yagula emmotoka endala
birubirirwa ki by'olina mu by'obufuzi
avunaanibwa okwenyigira ne mu misango emirala
yagamba abantu abaali bakivunaanyizibwako
bannayuganda bameka abaavu ennyo
waaliwo olukungaana mu maka g'obwa pulezidenti
gavumenti ekubiriza abavubuka okusomerera omulimu ogw'omu mutwe
amasomero mangi tegaweebwa buyambi bumala mu by'ensimbi
lwaki otera okusaba ssente buli kiseera
abo bokka abatuukiriza ebisaanyizo by'omulimu be bayitibwa ku yintaaviyu
amateeka ku bayingira mu ggwanga getaaga okwetegereza
tebajja kukkirizibwa kuddamu kukola
bbukya ziweebwa amagezi okutunda ennyama ennamu eri abaguzi baazo