text
stringlengths
0
2.73k
ani y'akugamba okulya ng'otambula
ani yabagamba okuyunja ettooke bwemutyo
ani yabagambye okuzaanyira mu bimuli bya bandi
ani yakugamba nti ayambala emikalabanda aba mulogo
ani yakugamba nti endagala za ggonja zisibwamu emmere
ani yakugamba nti engo erya omuddo
ani yakugamba nti ennaka zibuuka ekiro
ani yakugamba nti eryato balivunika mulireke ku mugongo
ani yakugamba nti obutiko babusiika leeta eno gwe ffe twewuutire
ani yakugamba nti obwo obutiko buliibwa busuule mangu
ani yakugamba nti omubala bagukuba n'engalo ndeetera eminyolo
ani yakugamba nti omukazi asikira omusajja
ani yakugamba okutuula mu kibbo
ani yakugamba okwambala otyo ng'ogenda mu kkanisa kale ddayo okyuse mangu
ani yakugamye okwambala engatto ezo ez'olugoye tezoozeka
ani yakulondedde olugoye olukadde bwerutyo kal elwambulemu
ani yakuyigiriza okuluka kyakyi nga gufaanana bulungi
ani yakuzimbira enju eyo nange annyambe ku yange
ani yali asimye ku mayenje ku mmwe
ani yalimye wano yatalizza omuddo ate natema ebijanjaalo
ani yaluka akakeeka kano akatobeke obulungi
ani yasekudde ebinyeebwa bino n'atabigonza
ani yasongodde emisito gino yanguwa ogyongereko tegimala
ani yategedde ku byavudde embuga atuyambe atubuulire
ani yatemye emiti gyabandi ayagala okutuleetera emiteeru
ani yatemye omuti gwa buddalasiini ogwabadde wali
ani yatemye sseddume yaffe okugulu
ani yawangudde okumeggana kw'eggulo
ani yayasizza endabirwamu y'abandi
ani yayiiya oluyimba olwo
ani yayiiye wano amazzi g'ebijanjaalo okutuwunyirira
ani yayozezza engatto zange mmusasule
ani yazaanyidde ku mmeeza yabandi eno
anti mulabe bwajja akaalakaala n'omuggo oba anoonya ani
anti mulengere bwe yeetakula ensolosozi kye zimukoze alifa akirojja
anti ssaagalaagalamidde ogiwulidde ate okolaki
anti wulira waliwo gwebatanzizza ekibanja lwa bubbi bwa mmere
atalabanga ku nfudu ayanguwe agirabe yiino esala ekkubo
atali mugumu tageza n'agenda awasemba wakwasa ensisi
atali wakuno nyo teyalaba ku kafumbirwango
atalidde ku lumonde ono omukalirire asubiddwa
atalina bbaluwa ya musawo tebamuwa kifo
atalina mulimu gweyaakoze tategana kusembera ku lujjuliro
atalina nsimbi togeza n'olinnya emmotoka njagala z'abuliwo
atalina nteekateeka nebwasasulwa obulungi era asigala nga bwali
atalya nsonzi nkalu ng'olabye osubwa obuwoomi
atamanyi kubaaga totegana kusembera linda kulya
atamanyi nti nnyunga wawa oyo nze gw'obuuliza eri ku sitenseni ye ggaali
atasobola kwetikka tatugoberera
ate bali abasiisira balagawa mu ssana
ate gwe abunye ensanke ovaawa
ate kiki ekibazizza mwe abagenze okusulayo
ate olowooza munno yakomyewo
ate ono asuukiira nga omwonge omusu abadde atya
ate ono azze ebiyengeyenge abadde ki
ate ono eyeepiika amazzi abadde atya
ate ono ozimbagantanye amatama abadde ki
ate oyo aseka ekimweguru alabye ki
ate oyo atugubadde abadde atya simanyi bakuvumye
atugambye nti tubalirire ebyonoonese atuliyirire
atugambye tugende tumusange eri ewa lunnuma
awo edda wali tewayitika lwa kinnya ekyo
awo edda weewaalinga essomero lya bamuzibe nga taata w'asomesa
awo nno mbalabye wamma mukwazze alima ne bba taba munafu
awo w'osanze enkata ku kkubo wewaali ewa ssengaawo
awo weyazimba tewaali wuwe yawambawo buwambi
ayogedde fenna tuwulira nti gwe wamutumye eggali
ba ssebo nzikkiriza ennamula yammwe ka nsasule omutango
baaba yerabidde ebiwandiiko bye mu nsawo yange
baana mwe musiibye mu muzaanyo enjala kebasiiyike mugitegeere
baana mwe muve mu mazzi amakyafu mujja kulwala obugeregere
baana mwe temutema olweeza lwange nga bwe mwakola olulala
baanamwe nabagaanyi ekyesuubo ekyo mukigyeyo mangu
baano abakyala abanoga ejjobyo lyo buli lunaku leero mbakutte lubona
baatugamba nti oyo yali kanywamusaayi ndowooza kye kyamuleetera okugwa eddalu
baatugamba nti kasikonda bwakukwata wabaawo akwogerako
baatugambye nebatusembereza obujanjabi okumpi ono y'akolayo
bagambe banguwe ndi ku bwangu mpitiddwa ewaffe
bakedde kugenda kusola binyeebwa gy'oba obasanga
bakkondo oluggi basambye lusambe twabalabidde munda
bakugambe kunoga katengotengo k'oba okozesa
balabe bonna bwe bawenyera tebafaayo kutega mmese kazibalume
balabe bwe bakunnumba nga bamaze okutabula bannaabwe
balagadde yasoose okutuuka anti bali abalese ku lusozi
balamaga yagaanyi okumpungulako leka nnewerekere nga bukyali
balamu ba mwanyako bamututte waabwe bamuwonye enju ey'omu
balina abaana abaweerera ddala tobalabira awo
balina abaana basatu omuwala omu n'abalenzi babiri
balinze gwe okubaaga twala mangu obwambe
baliruno tanywa mwenge ani yamukonye kuluno musajja wattu yenna agonze
balo mugambe enkya atuleetere ku ggaali eyo
bambi bwemunamuyeeya enyo mujja kumulemesa
bambi ng'olabye olugendo lukumenyedde bwerere munno taddanga
bambi tulage ku nnamunswa gw'ova okusima tetumulabangako
bamugamba akomere ettaka nnagayaala olabye bwe liweddewo
bamulekwa ba musa mwabatwalawa
banange ggonja yalemedde enkoto tumuveeko
bannange akasana nga bwekaaseeyo leero mwanike ku mutere waffe
bannange ani oyo ataankudde kamulaali atusonsomola ati
bannange ani yalidde amakobe gange gennaterese