text
stringlengths
0
2.73k
bannange leero mwerabidde okutemera ente yange ebisagazi
bannange lwaki leero temutufimbira ku mayuuni gaffe
bannange mujjule ku kammere mulowooza essaawa eziika tetuuse
bannange munnebalize omwami oyo ye yatusimidde oluzzi
bannange mwanawani oyo agenda aliira mu kkubo nga tulabye
bannange njagala munfunire yo amanyi okusamba ettaka
banno ab'emitala bakulinze wali mugende ku mupiira
banno b'akulinze nebakoowa genda obasaangeyo
banno balinde bagenze kunona njulu zange
banno tobalyako amawogola gaabwe agago gasigadde wano
bano abaana ababadde wano beebaasizza oluggyo lwange
bano abaana amagi b'agazize olwo natawaanidde ki okugafumba
bano abaana ekiwuugulu kyebabadde bayita enkerebwe
bano ababbi nabo banatutamya okulunda
bano abagenda mu lumbe tebaatuuke matumbibudde nga beekunyizza
bano abalimisa endogoyi nabo banaffe balimba nga ba buseere bulala
bano abasomesa olowooza bawulidde nga tewali anyeze baddiremu
bano abawala baka mbatidde musula mutya mukyalo nga temwalaze
bano bawalabo tebalabanga ku buyindiyindi
bano nno b'asuze bakuuma kyokero gyoba obasaanga
bantu ki abatalina mpisa abo booyagala nsenze ntayi
basajjabattu olugendo lwabamenyedde busa oli yasenguka dda
batugambye nti enkya teri kusoma omusomesa yalwadde
batugambye nti okufa kwe kwava ku mutima kwesiba
bawala ba lunninze bonna baayiga kusona makanzu mwe bafunye obugagga
bazzukulu ba ezeekeeri bonna bawanvu nga ye
bewagambye okulima bakandudde ekiryo kyo kyonna
bino bissemutundu ebiduze mubiguze kwani tezifudde busa zino
bino byendabye leero ndifa mbirojja
bino ebikanja byoleese nga bingi ku nkoko emu
blain amaati abiri gokka eryokusatu ly akitaabwe
bombi batandise okufuuyirira amabeere
bonna bagenze kusoma mugigi
bonna mbalese eri bavuga mpanka zaabwe
bu mulekwa bwa kasagga mbusanze bwefumbira oba nyabwe yalagawa
bukyanga kafuba amegga banne leero omukazi obukazi amusudde maliri
buli lw'ofuuyira omuddo ogwo obugimu bwettaka bukendeera
buli lw'ogenda n'omuwala oyo mubeera mu muzannyo leero sibalaba
buli lw'onyumya onzijukiza empuuta gyetwalayanga nga tuli bato ensiikeko
buli lwajja atuleetera omugaati
buli lwe ndya enva ezo nsula bweru leero muzeliire
buli lwe nnyambako engulu eyo nsangayo bizibu leero genda wekka
buli lwe ntunula ku nkovu eno mu kifuba nzijjukira mukakitange
buli lwe nyambala olugoye olwo nsiiyibwa omubiri gwonna
buli lwendya lumonde andeetera ekikeeto
buli lwewekubagiza ennyo weemalako emikwano
buli lwokola kyotekakasa ensobi tezibulamu
buli lwolaba ssetenda ng'azze ng'omanya tugenda kusamira
buli lwomuwa emmere nga tananaaba yebaka bwebasi asooke anaabe
buli munwe gw'ojjisa ogwebulizaamu ffe tetulye
buli muyizzi ateekwa okuba n'ekitimba ekikye nze saagala bakongola
buli mwezi gwa muzigo lwe gutuuka nga alwala oba yabaaki
buli obutiko obugenda okutobera ebweru ani y'abwaanise n'atabwanula
buli omu njagala alyeko ennyingo emu ziri nnya namwe muli bana
buli y'etema obuyambi mugambe abwanguye tugenda nkya
buli yetabye mu kukuba abasajja bali anoonyezebwa
bulijjo nkugamba omumpi ye mukulu ng'owakana
buno obujjo obweru bwebuba buzimbwa mu ddiirol
buno obukoko bulabika bwasuliddwa
buno obulo butuuse okusala mugire mwekwanyekwanye tubusale
buno obuloosa obuwunya buti oba obuwakankula wa
buno obulwadde buluma olaba bwamala baze akababba
buno obulwadde butuyigirizza okweteekateeka mu by'enfuna
buno obumonde obwa kakobe bumpoomera okukira buli
buno obumonde omutali kawooma mwabugyeewa
buno obutunda obunoze wa
buno obuzzi obuzunzo bwoleese bunagasaaki
bw'oba ogenda okufumba ebyenda ebyo y'ongera obyoze bitukule
bw'oba ogenzeeko ku ttale n'ogerayo ku twatwa n'ekikakala
bw'oba olina ku tuzzi tutaase enkalamata etutta
bw'oba otuusizza okugenda tewerabira emmumbwa za mulamuwo
bw'oba oyagala okuyiga weeteegereze nyo oyo bwakola
bw'oba tosobola kugumira bunyogovu ewaffe totegana kukyala
bw'okeera ennyo wandisanga nga tebannagulawo
bw'olaba nno olusuku mwayunjizza enkota ezo weewuunya
bw'ompa ku malagala ga kawogo ago nnange NGNGende mbyaleko
bw'onywa ku mujaaja gwe atukaabirira olubuto
bw'onzuulira akatuntunu akatono okandeetera
bw'osanga nga taliiwo oyambuka eri mu kkomagiro gyatera okusiiba
bw'otoove mu kunaanya wandisubwa edduuda
bw'otuuka awali olwazi ng'owetera ku ddyo ng'okirira
bw'owulira ng tolina maanyi gagenda mugga yoza ebintu munno agende
bw'owulira nga banyanyagiza kkolokota ensaka ngomanya bakwasizza
bw'owulira nga tolina maanyi leero wummula onadda enkya
bwaba nga tagigula yonna agireke situndako kiwagu
bwanyiiga n'anyiiga ye nga bulijjo ayambala ezange
bwe mumala okwoza engoye ezo nga mugenda munoona ku munnamwe
bwe nkubuuza tonnyanukula nnakukola ki ekyo ekyakunyiiza
bwebaali bagaba ebintu oyo teyabalwa
bwebibalema okwettikka muwalule biwalule
bwemuba mwagala kukozesa ako akambe musooke mukawagale
bwemulaba nseka mulowooza nsanyuse ani yatemye eddagala lyange
bwemutamalawo mmere eyo sibawa nyama
bwemutayanguya nja kubaleka
bwemutefeeko nemunoonyayo akokulya muwedde oyo omumanyi afumba lukulutokota
bwemwasa eyo enduli emala okufumbisa
bwennabadde ngaba ebintu nnakwerabidde linda omulundi omulala
bwetugenda leero tuba tusubiddwa embaga
bwoba nga bwotyo bwosazeewo tewali agaana obulamu bubwo
bwoba nga otuwadde kamu kokka lekayo katugende tweyazike awalala