text
stringlengths
0
2.73k
abayizi be basinga okuganyulwa mu pulojekiti
waliwo okweyongera yongera mu bungi bw'abantu abakwatibwa ekirwadde kya kookolo
byonna bibaddewo mu makkati w'ebiseera
abantu bangi mu uganda baasuuka obulwadde bwa corona
gavumenti ejja kuwa abakadde obuyambi
waliwo ebintu bingi bye twetaaga okumanya nga tetunnayingira bufumbo
omukulembeze aliko mweraliikirivu ku muwendo gw'abasirikale ogweyongera mu kitundu
buvunaanyizibwa bwa gavumenti okusomesa abantu baayo ku bulwadde obw'enjawulo
ekibba ttaka kyeyongedde nnyo
abazadde basomesa abaana baabwe
nnatuuka ebibuuzo byonna ebyali ku lupapula lw'ebibuuzo
abayimbi abatali bamu baakoze ekivvulu okujjukira obulamu bwa muyimbi munnaabwe eyafa
abayizi bonna beetaba mu mazina g'ekibiina
ettaka lisobola okukola nga omusingo
yagobwa ku mulimu mu kifo kye ne bazzaawo omuwandiisi we
omubuulizi w'essomero yatukulembeddemu mu kusaba ku paleedi
bitature yatenderezza private sector foundation uganda olw'omulimu omulungi
baminisita abaliko bawangulwa mu kulonda kw'ebibiina
buli muyizi yagambibwa okugula ekitabo
obulimu n'obulunzi kye kintu ekisinga obukulu ab'omu maka gange mwe bajja ssente
kigambibwa nti ekirwadde kya korona kiri mu mitendera egitali gimu
si kyangu bakasitoma baabwe kukyusa layini yaabwe kudda ku ndala
abazannyi b'omupiira beetaaga emmere ezimba omubiri okuzimba n'okuddaabiriza emibiri gyabwe
disitulikiti eyongeddemu amaanyi okumalawo kkookolo
ssente nnyingi zaasaasaaanyizibwa mu kusasula bannamateeka n'okutambuza kw'abajulizi
abantu bakubiriziddwa okusigala nga bakkakkamu
abantu tebakkiriza nti amateeka agaateekebwawo gajja kuziyiza akawuka
ekitebbe ky'abasiraamu ekikulu kiri kibuli
yaloopye eyamusobyako ku poliisi
enkuba yatandise okutonnya nga nvuga okudda eka
muganda we omulenzi yamugulira edagala erimu
ensiri tezinywa musaayi gwa bantu gwokka
abasawo bali banyiikivu mu kuwa bantu obujjanjabi
ennyimba ze zaaleeta emirembe n'okwagala mu bantu b'ekitundu
abawala abasinga bagyamu embuto mu kyama
tuyina okunoonya eky'okukola okutereeza embeera
victoria sekitooleko yajja okumyuka karuhanga okumala emyaka esatu egiddako
nambooze yanenya emikutu gy'empuliziganya nti gye gyali gireeseewo obukuubagano mu dp
omuvuzi wa loole yadduse
kigendererwa ki eky'okuba n'ebibiina
olukungaana twaluggalawo n'okusaba
amaka gwe musingi gw'ekitundu
tosobola kuba byombi
poliisi esaanidde okukwata abatujju bonna
abantu abatonotono abaagala okumanya ekigenda mu maaso batwetoolodde era batutunuulidde
enguudo zijja kuba za lukale
okuwangula omusango kyetaagisa omuntu okuwa kkooti obujjulizi obutabuusibwabuusibwa
abantu batono nnyo abeenyigidde mu kulima ppamba
abanoonyiboobubudamu tebalina kusosolebwa
ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga kikulembezza okuteekawo ebitaala by'oku nguudo
abawagizi baayoleka ebikolwa eby'obukambwe bwe baakwata munnabyabufuzi gwebaagala
ebintu ng'ebyo bikosa ensoma y'omuyizi
abakulembeze abapya bamanyisiddwa
mukyala we mukkakkamu nnyo
omukwanaganya wa alliance for national transformation tajja kuteeka mukono ku kiwandiiko
abasomesa bajja kuyamba okutumbula enkola z'essomero
baagambiddwa okuwaayo alipoota eri abakungu ba disitulikiti
tokozesa byuma bya mpewo air conditioner kubanga binywa amafuta mangi
abantu naddala abakyala bafuba okufuna amazzi
bwe yagwa ku kabenje buli omu yajja okumuyamba
uganda breweries efaayo nnyo ku bbula ly'amazzi mu kiseera kino
awatali bubaka buno wandibaddewo ensaasaana y'akawuka eya waggulu
yagula emiyembe n'emikyungwa
abantu bonna abafuluma n'abayingira eddwaliro balina okunaaba engalo zaabwe
okumala gasuulasuula amanda g'amasimu kirina obulabe bwe kiteeka ku bintu ebitwetoolodde
omukozi agamba nti ovaamu omusaayi mungi
akawuka akaleeta omusujja gw'ensiri kakozesa enkola eyitibwa double branched metabolic pathway
abakugu mu byenfuna babalirira n'okukwata obulungi ensimbi
disitulikiti efunye obuyambi okuva mu pulojekiti ez'enjawulo okuva omwaka oguwedde
okuggala amasomero kikosezza buli omu
waliwo engeri nnyingi ez'okujjanjabamu abakazi abalina emikisa emitono egy'okuzaala
baategeka okusaba basobole okwebaza katonda olw'okubakuuma nga balamu
kkampuni ya cable company gye buvuddeko yatongoza engeri y'okuyungamu eby'obusuubuzi mu afirika
abatuuze si beetegefu kuva ku ttaka
enteekateeka ez'okuwandiisa abantu tezaatambula bulungi
omuwendo gw'abantu abafa mu kitundu guli waggulu
mu mwezi gw'okuna mu nkumi bbiri mu abiri uganda yalumbibwa enzige okuva e kenya
mugaso ki ogwa bannamawulire
abakulembeze b'ekkanisa balina okukubiriza abantu okukola
ofaayo singa ozinako nange
abakyala n'abaami balina okusomesebwa ku ngeri z'okugonjoolamu obukuubagano mu maka
obutimba bw'ensiri obukadde musanvu obulimu eddagala bwe bwetaagibwa okusobola okukuuma abantu
ki ekireetera abantu okwekalakaasa
ababaka ba palamenti bonna abaliwo mu kiseera kino baalondebwa bulondebwa
bannayuganda bantu baaniriza nnyo
ekitongole kya disitulikiti eky'ebyobulamu kyakoze okunoonyereza ku kubalukawo kw'omusujja gw'enkaka
yawa abakozi be akasiimo ka ssekkukulu olw'okukola ennyo
abasinga obungi bajja kufuna akakisa ak'okuba nti ebirowoozo byabwe bikiikirirwa
yali agenda mu ddwaliro n'azaala
gavumenti etaddewo ssente ez'okutuusa amasanyalaze mu bitundu eby'omu byalo
ekitundu kimu kya kubiri eky'abantu abaali mu kibiina ky'obufuzi ekyo baakivaamu ne beegatta ku kibiina ekirala
tulina okukuuma amaka gaffe nga mayonjo
balina okulonda oludda
omuggalo gwamala emyezi mukaaga
ensi yonna eri mu kirwadde bbunansi
biki ebigenda okwogerwako mu lukungaana luno
banka zaakendeeza ku muwendo gw'ensimbi eziweebwa abantu olw'obutaba na musingo
abakungu banyonnyodde nti abantu beetaaga obukugu okutandikawo ekintu kyonna ekibagasa
kampuni z'amasimu zigonzezza nnyo eby'empuliziganya mu ggwanga
ayagala kugenda ku mwezi