text
stringlengths
0
2.73k
buli lw'abaako ky'attidde aleekaanira waggulu
nsonyiwa olw'obutaddamu ebimu ku bibuuzo byo
obubenje ddekabusa bungi nnyo ku nguuddo ezikozesebwa ennyo
okutereeza obulungi emipiira gy'emmotoka kyetaaga okukolebwa buli mwaka
ku nnyanja victoria kuliko emyalo mingi
poliisi esobola okugezaako okugonjoola obutakkaanya wakati w'omwami n'omukyala
emmotoka yange nkadde nnyo
ekyazuulwa kyayanaamiriza bangi
ebibiina by'abakyala bigunjiddwawo mu uganda
okutumbula abakyala kukubiriza eby'enkulaakulana mu by'enfuna
mukyala wange yampaliriza okugula poloti tuzimbemu ennyumba eyaffe ku bwaffe
ekifo kikyuuma kubanga omuddumu gwa kazambi gwayabise ku makya leero
nsobola ntya okufuna ebirowoozo ebipya
abasomesa balina okufa ku byetaago by'abayizi kyenkanyi
obukulembeze bwa rwanda bulaba museveni ng'omulabe
waliwo ensisinkano wakati w'abakozi b'e ggombolola ne ttiimu z'ekyalo ez'ebyobulamu
omutembeeyi atunda apo zokka
ayagala nnyo okufumbirwa omwaka guno
yabaaniriza ku ttiimu
ssente zeyeewola azisasula buli mwezi okuva ku ezo bbanka z'esala ku musaala gw'afuna buli mwezi
togenda kati
ssi kya bulijjo okusanga taata ng'akuza abaana be yekka
enkuba yankubye
nnabakyala wa bungereza yasooka kukyalira uganda mu lukumi mu lwenda ataano mu ena
waabaddewo okulwanagana eggulo
tulina okutereeza ensobi ze twakola
bonna abalina okufuna akasiimo balina okuweebwa ssente zaabwe awatali kulemererwa
ekiwayi ekikola ku kunoonyereza emisango kiwandiise omusango
yasika mukazi we n'amufulumya mu nnyumba
kikulu nnyo okumanya enjawulo wakati w'okukuyega n'okulonda
kyetaagisa ssente nnyingi okubeera mu disitulikiti y'e isingiro
erinnya ly'oluguudo luno lyabbululwa mu linnya lya ssaabaminisita wa uganda eyasooka
eddwaliro lisabye obukadde butaano obw'ensimbe za uganda okusobola okukola ku mulwadde
obulimi n'obulunzi bifuuka kuzibu mu bitundu ebirimu omusana
abantu abamu baafiirwa emirimu gyabwe era tebasobola kulabirira ba mu maka gaabwe
bamulekwa balina okulambikibwa n'okubuulirirwa
abalimi basobola okulima ebimera n'okulunda ebisolo mu budde bwe bumu
ssentebe omuggya ajja kulondebwa mu bwangu
ku bombi ani abuzaabuza munne'
olunaku lw'ebisolo lukuzibwa nga ssatu ogw'omukaaga buli mwaka
ye mukazi eyasooka okwambala empale mu ofiisi eno
tukola okusobola okulongoosa embeera yaffe ey'obulamu
kojja wange yampa ekirabo ekirungi ennyo ku mukolo ggwange ogw'amattikira
abagenyi abayite bokka be basuubirwa okujja ku mukolo
emikago gye gimu ku miganyulo gy'okubeera mu bibiina by'obwegassi
taata wange ali mu magye
okukkiriza kwo kuli wa
lwaki omwana yali akaaba
okufumbirwa amangu mu baana kireetedde abawala bangi okuva mu masomero
buli mwaka kampuni mwe nkolera ewa ebirabo abakozi baayo abasinze okukola obulungi
omukulembeze w'eggwanga yayogera mu lukiiko olwalimu abakungu okuva mu ethopia
wakuguka mu ki
abatuula ku kakiiko k'oku ntikko baalina akakiiko
minisita yavumiridde obutakkaanya obwo
ndi musanyufu nti mikwano gyange emikadde gyamaze ne gyagalana
buli muntu yandisaanye okwenyigira mu kubaga amateeka
ssemateeka tamukkiriza kuddamu kwesimbawo kuvuganya mu kifo kya pulezidenti oluvannyuma lw'okulonda kuno
omusajja oyo amanyiddwa okutunda ebintu ebibbe
yalonda obujjanjabi obutalina buzibu bungi
obuweereza bw'ekizaalaggumba bujja kuweebwa abakyala n'abaana abavubuka mu bukiikakkono bwa uganda
uganda terina ssente zimala
ensingo yali emuluma kubanga yali yeebase bubi
yawaabidde eyaweebwa ttenda olw'akasolya k'enju ye akabi akaakolebwa
emiruka ena mu arua gijja kwetaba mu pulojekiti
abavubuka bangi batandise okutunda emmere
okubuzaabuzibwa mu kulonda kundese neewuunya oba nga tulina abakulembeze abalungi
gavumenti eyagala abaana ba pulayimale bonna mu ggwanga basome
muwala wange ayagala okusiiga ebifaananyi by'ebikoola
omwana yakaabye bwe nnabadde nva awaka
abantu beetaaga okumanyisibwa ku ngeri y'okukuumamu emibiri nga miramu
okukozesa abaana abato emirimu n'okufumbiza abaana abato bye bimu ku bintu ebityoboola abaana
era nkyavugira ku sipiidi wadde nga nvugira ku lupanka
abaana b'essomero abalya obuugi mu budde bw'ekyemisana basumagirira mu masomo g'akawungeezi
abawagizi baagala kugulira kibiinja bbaasi
akasiisira ka muliraanwa konna kaakulukusibwa amataba
omubalirizi wa gavumenti ajja kulondoola engabanya y'ensimbi
tujja kukungula engaano omwezi ogujja
okusimba emiti kirungi mu nfulumya y'omubisi kubanga kissaawo embeera ennungi
ebikonde kati muzannyo ogumanyiddwa mu nsi zonna
bubonero ki obulaga omusujja gw'ensiri
entuula za kkooti endala zaakutuula
amaterekero g'ensimbi gayamba mu kukulaakulanya ebyobulamu
tulina ebisenge ebinene mu wooteeri eno
abakulembeze n'abantu balina okutegeezebwa n'okutemezebwako okusobola okudduukirira mangu
abantu bateekeddwa okuloopa omuntu yenna ayina emmundu nga tayina layisinsi
ye musika wa kitaawe
bye yali ayogerako byali tebitegeerekeka bulungi
eddagala ery'enjawulo erikozesebwa mu kufuuyira limala ebiseera bya njawulo nga likyakola
amasomero galina okubonereba abayizi abatalina mpisa
olutindo lutuyamba okusomoka amangu omugga
waliyo amataba mu disitulikiti ya arua
abaana bakola emikwano bwe babeera n'abalala
buli muzannyo gulina amateeka gaagwo agalina okugobererwa
mukulembeze mu kibiina ekimu eky'ensi yonna
enguudo zongera ku mutindo gw'entambula
mu uganda tulina abayimbi bangi abayimba ennyimba z'eddiini
abantu baali basanyufu olw'obuyambi bwe baafuna
okulondamu obubondo kigasa demokulasiya okukola
abakyala era tebannakiikirirwa bulungi mu bifo by'obukulembeze
amawulire gali mu kukwata ebiri mu kukolebwa mu kulonda